Job 36:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjota emulangirira, bw'aba ajja mu busungu bwe okulamula aboonoonyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja, n’ente ne zirangirira okujja kwayo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okubwatuka kw'eggulu kulaga nti kibuyaga asembedde. N'ente zimanya nti ajja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okubwatuka kw'eggulu kulaga nti kibuyaga asembedde. N'ente zimanya nti ajja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddoboozi lyazo linnyonnyola ebigambo bye, Era libuulira n'ente kibuyaga ayambuka.