Job 36:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso ge tagaggya ku mutuukirivu; abassa ku nnamulondo wamu ne bakabaka, n'abagulumiza ennaku zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Taggya maaso ge ku batuukirivu, abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka n’abagulumiza emirembe n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Taggya maaso ge ku batuukirivu, Naye ku ntebe awali bakabaka, Gy'abateeka ne bagulumizibwa emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abataliiko kye bavunaanibwa tabaggyaako liiso; naye ku ntebe awali bakabaka kw'abateeka ne bagulumizibwa ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Taggya maaso ge ku batuukirivu Naye awali bakabaka ku ntebe Gy'abateeka emirembe gyonna ne bagulumizibwa.