Job 36:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abalaga bye baakola n'emisango gyabwe, nti baayonoona olw'okwekuza kwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe, nti, beewaggudde,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda abalaga ebibi byabwe, N'amalala gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda abalaga kye baakola, era nga bwe baasobya nga beekulumbaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale n'abalaga omulimu gwabwe, N'okusobya kwabwe nga bagize eby'amalala.