Job 37:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bigenda ne bidda nga bw'ateesa; byetooloola wonna ku nkulungo y'ensi, nga bikola nga bw'alagira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Byetooloolatooloola nga y’abiragira, ne bituukiriza byonna by’abiragira, ku nsi yonna okubeera abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebire byetooloola eno n'eri nga bw'aba abiragidde. Bikolera ku biragiro bye, Buli wantu gye biraga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebire byetooloola eno n'eri nga bw'aba abiragidde. Bikolera ku biragiro bye buli wantu gye biraga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era okuluŋŋamya kwe kwe kukikyusakyusa eruuyi n'eruuyi, Bikolenga byonna by'abiragira Kungulu ku nsi yonna okubeereka: