Job 37:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayinza okubireeta olw'ekibonerezo, oba olw'ensi ye, oba olw'ekisa kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Atonnyesa enkuba ku nsi, Olumu kubonereza, oluusi kulaga kisaakye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Atonnyesa enkuba okufukirira ensi. Olumu agitonnyesa lwa kubonereza bantu. Olumu kaba kabonero akalaga ekisa kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba nga kya kubuulirira, oba nga kya nsi ye, Oba nga kya kusaasira, kyava akireeta.