Job 37:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omanyi Katonda lw'alagira ebire, n'abigamba ne bireeta ekimyanso?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omanyi Katonda engeri gy’alagiramu ebire, n’aleetera eggulu okumyansa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omanyi Katonda bw'alagira ebire, Okumyansa ne kuvaayo mu byo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omanyi Katonda bw'alagira ebire, okumyansa ne kuvaayo mu byo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omanyi Katonda bw'abikuutira, N'ayasa enjota ez'omu kire kye?