Job 37:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tetuyinza kutuuka Muyinza wa buli kantu; asukkulumye obukulu n'ennamula, mu butuukirivu bwe obungi tayinza kunyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi, mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuyinza w'ebintu byonna tetuyinza kumusemberera. wa buyinza bungi, Mutuukirivu era mwenkanya ku kusala kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuyinzawaabyonna okumanya wa buyinza nnyo, tetuyinza kumusemberera. Asala mu bwenkanya era mwesimbu. Tatulugunya bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuyinza w'ebintu byonna tetuyinza kumunoonya; asinga bonna obuyinza: Era mu musango ne mu butuukirivu obusukkirivu talibonyabonya.