Job 37:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuwuluguma kwe ne kugoberera; n'abwatuka n'eddoboozi ly'ekitiibwa kye. Ng'eddoboozi lye limaze okuwulirwa, teri kimuziyiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako, abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka, era eddoboozi lye bwe liwulirwa, tewabaawo kisigala nga bwe kibadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lwakwo eddoboozi ne liwuluguma, Ne libwatuka n'entiisa. Liwulirwa, nga n'okumyansa bwe kugenda mu maaso.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo eddoboozi lye liwuluguma, ne libwatuka n'entiisa. Liwulirwa, nga n'okumyansa bwe kugenda mu maaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lwakwo eddoboozi ne liwuluguma; Abwaluka n'eddoboozi ery'obukulu bwe: So tabiziyiza eddoboozi lye bwe liwulirwa.