Job 38:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
lwe nagamba nti: ‘Wano ojja kutuukawo, naye tosukkawo; wano amayengo go agakulumbadde we ganaakomanga’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo, era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnenjigamba nti, Wano w'okomanga so tosukkangawo Era wano amayengo go ag'amalala we ganaaziyirizibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ngigamba nti: ‘Okomanga wano, era tosukkangawo. N'amayengo go agasuukiira we ganaaziyirizibwanga.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera nti Wano w'okomanga so tosukkangawo; Era wano amayengo go ag'amalala we gaziyirizibwanga?