Job 38:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wali ogguliddwa emiryango gy'olumbe? Wali olabye emiryango gy'ekisiikirize ky'olumbe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe? Oba wali olabye enzigi z’ekisiikirize ky’okufa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo eyali akulaze enzigi z'emagombe, Eziyingira mu kizikiza ebeera abafu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo eyali akulaze enzigi z'emagombe, eziyingira mu kizikiza awakuumirwa abaafa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enzigi ez'okufa zaali zikubikkuliddwa? Oba wali olabye enzigi ez'ekisiikirize eky'okufa?