Job 38:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani ategekera nnamuŋŋoona ky'alya, obwana bwe lwe buwanjagira Katonda, lwe butangatanga olw'obutaba na kye bulya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani awa namuŋŋoona emmere, abaana baayo bwe bakaabirira Katonda, nga batambulatambula nga babuliddwa emmere?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani aliisa bannamuŋŋoona emmere, Abaana baabyo bwe bakaabira Katonda, Ne batambulatambula okunoonya emmere?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani aliisa binnamuŋŋoona bwe bitambulatambula okunoonya emmere, ng'abaana baabyo bankaabirira?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani alabira namuŋŋoona emmere ye, Abaana be bwe bakaabira Katonda, Ne batambulatambula olw'okubulwa ebyokulya?