Job 38:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani yagipima? Nkakasa omanyi. Ani yagikubako olukoba olupima?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi! Oba ani eyagipima n’olukoba?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani yasalawo obunene byayo, oba nga omanyi? Oba ani eyagipimako omuguwa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani yasalawo bw'enenkana obunene? Oba ani yagipimisa omuguwa? Tolema ggwe kumanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani eyateesa ebigera byayo, oba nga omanyi? Oba ani eyagireegera omugwa?