Job 39:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omanyi obudde embuzi z'omu nsozi we zizaalira, yadde wali olabye empeewo nga zizaala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omanyi ebiro embuzi z’oku nsozi mwe zizaalira? Oba oyinza okumanya empeewo we ziwakira?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omanyi ebiseera embulabuzi ez'omu nsozi mwe zizaalira? Oba wali weetegerezza empeewo bw'ezaala?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omanyi ebiseera engabi ez'omu nsozi mwe zizaalira? Oba wali weetegerezza empeewo bw'ezaala?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omanyi ebiro embulabuzi ez'oku njazi mwe zizaalira? Oba oyinza okutegeera empeewo bwe ziba n'amawako?