Job 39:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye akadde bwe katuuka, n'esitula waggulu ebiwaawaatiro, esekerera embalaasi n'omwebagazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo edduke esoomooza embalaasi n’omugoba waayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'etandika okudduka, Temanya mbalaasi n'oyo agyebagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bw'etandika okudduka temanya mbalaasi na mwebagazi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'aba nga yeegulumizizza, Anyooma embalaasi n'oyo agyebagala.