Job 39:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ggwe owa embalaasi amaanyi g'erina, oba oyambaza ensingo yaayo n'egginirizi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi, oba ggwe oyambaza ensingo yaayo obwoya obwewumba?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe wawa embalaasi amaanyi gaayo? N'oyambaza obulago bwayo olugiŋŋirima lw'ekankanya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi, n'obulago obukankanya olugiŋŋirima?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wawa embalaasi amaanyi gaayo? Wayambaza obulago bwayo n'olugiŋŋirima olukankana?