Job 39:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eŋŋombe oluvuga, n'egamba nti: ‘Ky'ekyo.’ Ekkalalume ly'olutalo eriwulirira wala, n'amaloboozi g'abagabe, n'okukuba enduulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekkondeere bwe livuga n’egamba nti, ‘Awo!’ N’ewunyiriza olutalo olukyali ewala, n’ewulira n’okuleekaana kwa baduumizi b’amaggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eŋŋombe buli lwe vuga, n'efugula nti, “Otyo!” N'ekonga olutalo ng'ekyali wala, Ng'ewulira okuleekaana kw'abaduumizi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lwe bafuuwa eŋŋombe, n'efugula nti: ‘Otyo!’ Olutalo n'okuleekaana kw'abaduumizi ebikonga ng'ekyali wala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekkondeere buli lwe livuga, n'eyogera nti Bw'otyo N'ekonga olutalo nga lukyali wala, Okubwatuka kw'abaami n'okuleekaana.