Job 39:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebeera mu njazi, n'esula eyo ekiro; ebbanga ery'olwazi ky'ekigo kyayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lwazi kw’ezimba amaka gaayo ekiro n’esula okwo, ku lwazi olunywevu olutabetentebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebeeramu mpompogoma ze nsozi empanvu, N'ekola eyo amaka gaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ezimba mu mpompogoma z'enjazi engulumivu, n'ebeera eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebeera ku jjinja, n'ennyumba yaayo eri okwo, Ku linnyo ly'ejjinja n'ekifo eky'amaanyi.