Job 39:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwana bwayo bunywa musaayi, awali ekittiddwa nayo w'ebeera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obwana bwayo bunywa omusaayi, era awali emirambo w’ebeera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana baayo banywa musaayi. Era awali ekifudde yo weebeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana baayo banywa omusaayi. Awali ekifudde, yo w'ebeera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abaana baayo banuuna omusaayi: Era awaba emirambo, gy'ebeera eyo.