Job 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gwayimirira awo, naye saasobola kutegeera nfaanana yaagwo; gwandabikira mu maaso gange, ne mpulira akaloboozi akasiiya nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne buyimirira butengerera, naye saasobola kwetegereza ndabika yaabwo, n’ekifaananyi kyali mu maaso gange, ne wabaawo akasiriikiriro, ne ndyoka mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayimirira buyimirizi, naye nga siyinza kwetegereza kye ndaba, Ekifaananyi kyali mu maaso gange: nga wonna kasirikiriro, ne mpulira eddoboozi nti:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gwayimirira buyimirizi, naye ne sigwekkaanya. Ekifaananyi kyandi mu maaso, nga wonna kasiriikiriro. Ne mpulira eddoboozi nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gwayimirira buyimirizi, naye ne siyinza kwetegereza bwe gufaanana; Ekifaananyi kyali mu maaso gange: Waaliwo okusirika, ne mpulira eddoboozi eryogera nti