Job 4:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Singa oli aneetambaala okwogera naawe, onookaluubirirwa? Naye ani akyasobola okwekuuma obutayogera?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu bw’anaayogera naawe onoonyiiga? Naye ani ayinza okusirika obusirisi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuntu bw'anaagezaako okwogera naawe, onoonyiiga? Naye ani ayinza okusirika obusirisi naatabaako kyayogera?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'anaayogerako naawe kinaakukola bubi? Naye ani ayinza okwefuga n'atabaako ky'ayogera?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'anaagezaako okwogera naawe, onoonyiiga? Naye ani ayinza okuzibiikiriza obutayogera?