Job 4:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva enkya okutuusa akawungeezi babetentebwa, bazikirira ennaku zonna nga tewali n'ategedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bamalibwawo wakati w’amakya n’akawungeezi, bazikirira emirembe n’emirembe awatali abafaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bazikiririra mu kiseera ekiri wakati w'enkya n'akawungeezi: Babula emirembe gyonna nga tewali akissaako mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuzikirira kwabwe tekutwala na bbanga: Okuva ku makya okutuusa akawungeezi, baggwaawo ne batajjukirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bazikiririra mu kiseera ekiri wakati w'enkya n'akawungeezi: Babula emirembe gyonna nga tewali akissaako mwoyo.