Job 4:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lowooza bwe wayigiriza abangi, n'emikono egiragaya nga bwe wagigumya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, wayigiriza bangi, emikono eminafu wagizzaamu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wayigirizanga bangi, Era wanywezanga emikono eminafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wayigirizanga bangi, era wagumyanga abanafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, wayigirizanga bangi, Era wanywezanga emikono eminafu.