Job 4:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze nga bwe ndabye: abo abeeyisa obubi, abo abasiga akabi, ke bakungula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu, bakungula bizibu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndabye, abo abakabala obujeemu, Ne basiga okwonoona, era ebyo bye bakungula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze ndabye abafaabiina ng'omulimi bw'akabala. Ne bategeka ennimiro, ne bagisigamu ebyonoono awamu n'emitawaana. Era ebyo bye bakungulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe nnalaba, abo abakabala obujeemu, Ne basiga obuyinike, era bye bakungula.