Job 40:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyukira buli eyeekuza yenna omusse wansi, ababi babetentere wansi we bali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tunuulira buli muntu ow'amalala omukkakkanye; Olinnyirire ababi we bayimirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala tunuulira buli mwepansi omukkakkanye Olinnyirire ababi awo wennyini we bali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tunuulira buli muntu ow'amalala omukkakkanye; Olinnyirire ababi we bayimirira.