Job 41:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekifuba kye kikaluba ng'ejjinja, kigumu okwenkana olubengo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zonna zisibaganye nga tewali mpewo weeyita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erimu lyegatta linnaalyo, Ne watasigala kaagaanya empewo weyinza okuyita.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Erimu liriraana linnaalyo, ne watasigala kaagaanya wadde n'empewo eyitemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Erimu lyegatta n'ery'okubiri bwe lityo N'okuyinza empewo ne zitayinza kuyita wakati waago.