Job 41:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitala bwe kimufumita tekiriyimiriramu, yadde effumu, akasaale, newandibadde akajogolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’eyasimula, ebimyanso bijja, n’amaaso gaayo gali nga enjuba ng’egwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwasimula kwayo, kuleeta ekitangaala. N'amaaso gaayo gamyuka nga enjuba evaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'ekuba emyasi, givaamu ekitangaala. Amaaso gaayo gamyuka nga njuba evaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwasimula kwayo kumyansaamu omusana, N'amaaso gaayo gafaanana ebikowe eby'enkya.