Job 41:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akasaale tekamuleetera kudduka; envuumuulo ku ye eri ng'akasubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka ng’ogwentamu eyeesera eri ku muliro ogw’emmuli ezaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnyindo yaayo muvaamu omukka, Ng'oguva mu ntamu etokota, ne mu kisaalu ekyaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennyindo yaayo evaamu omukka ng'oguva mu ntamu etokota, ne mu kisaalu ekyaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnyindo zaayo muva omukka, Ng'ogw'entamu etokota n'ogw'ebitoogo ebiggya.