Job 41:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku nsi tekuli amwenkanya buyinza, kitonde ekitalina kye kitya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwesituka ab’amaanyi batya. Badduka olw’okubwatuka kwayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'esituka bweti, ab'amaanyi batya, Beekanga ne babulwa eky'okukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'egira eti n'esituka, wadde balubaale batya! Beekanga ne babulwa eky'okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'eyimuka ab'amaanyi batya: Olw'okwekanga nga baliko eddalu.