Job 41:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kyepanka kyonna akinyooma; ye kabaka w'ebisolo byonna ebyekuza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitala bwe kigituukako tekirina kye kiyinza kumukolako, oba ffumu, oba omuwunda wadde akasaale akasongovu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe bagisimbako ekitala, tekiriiko kye kiyinza kukola. Effumu, omuwunda wadde akasaale tebisobola kugikolako kintu kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Agisimbako ekitala, tagireetako kamogo. Effumu n'omuwunda wadde akasaale, bya bwereere!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe bagisimbako ekitala, tekiriiko kye kiyinza kukola; Newakubadde effumu newakubadde omuwunda newakubadde akasaale akasongovu.