Job 41:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugongo gwe gubembekeddwako engabo; ziyungiddwa gulugulu n'envumbo ey'ejjinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyinza okuvuba eddiba lyayo n’olijjuza amalobo, oba omutwe okugufumita n’amafumu agafumita ebyennyanja?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyinza okugifumita effumu ne liyita mu ddiba lyayo? Oba omutwe gwayo n'ogufumita emiwunda egiswaga ebyennyanja?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyinza okugifumita effumu ne liyita mu ddiba lyayo? Oba omutwe gwayo n'ogufumita emiwunda egiswaga ebyennyanja?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyinza okujjuzanga eddiba lyayo ebyuma ebiriko amalobo, Oba omutwe gwayo emiwunda egiswaga ebyennyanja?