Job 41:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli emu enywezeddwa ku ginnaayo, n'omukka sigulina kaagaanya we guyita.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’oligissaako engalo zo ekirivaamu tolikyerabira, toliddayo kukikola!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Giteekeko omukono gwo, on'olaba, Tolyerabira lutalo, tolikiddira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Geza ogikooneko, tolikiddira lulala! Era olutalo tolirwerabira!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Giteekeko omukono gwo; Jjukira olutalo olemenga okweyongera okukola bw'otyo.