Job 42:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yobu bwe yali asabira mikwano gye, Omukama n'akyusa embeera ye. Eby'obugagga bya Yobu bye yalina Omukama n'abimuddizaawo emirundi ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’aggyawo ennaku ya Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye. Mukama n’awa Yobu ebintu emirundi ebiri okusinga bye yalina okusooka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye, Mukama n'amuddizaawo obugagga bwe, yamuwa emirundi ebiri okusinga bye yalina olubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye, Mukama n'amuddizaawo obugagga bwe, era n'amuwa bungi emirundi ebiri okusinga bwe yalina olubereberye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'akyusa obusibe bwa Yobu, bwe yasabira mikwano gye: Mukama n'awa Yobu okusinga emirundi ebiri ebyo bye yalina olubereberye.