Job 42:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baganda be bonna, bannyina na bonna abaamumanya mu kusooka ne bajja gy'ali; ne balya naye mu nnyumba ye, ne bamusaasira, ne bamukubagiza olw'ebizibu byonna Omukama bye yali amuleetedde; buli omu n'amuwaayo kesita emu, n'empeta eya zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo baganda be bonna ne bannyina bonna ne bajja n’abo abaali bamumanyi okusooka, ne balya naye emmere mu nnyumba ye; ne bamusaasira ne bamukulisa okubonaabona kwonna Mukama kwe yakkiriza okumutuukako. Buli omu ku bo n’amuwaayo ffeeza nga bwe yasobola, n’empeta ya zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo baganda be bonna ne bannyina bonna, n'abo bonna be yamanyagananga edda, ne bajja ne baliira wamu naye ekijjulo mu nnyumba ye. Ne bamusaasira olw'obubi bwonna Mukama bwe yamutuusaako. Buli omu ku bo n'amuleetera ekitundu ekya ffeeza, n'empeta eya zaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo baganda ba Yobu bonna ne bannyina, ne bajja, ne baliira wamu naye ekijjulo mu nnyumba ye. Ne bamukubagiza olw'ebizibu byonna, Mukama bye yamutuusaako. Buli omu ku bo n'amuleetera ekitundu kya ffeeza n'empeta eya zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo baganda be bonna ne bajja gy'ali ne bannyina bonna n'abo bonna be yamanyagananga nabo olubereberye, ne baliira emmere wamu naye mu nnyumba ye: ne bamukaabira ne bamukubagiza olw'obubi bwonna Mukama bwe yamuleetako: era buli muntu n'amuwa ekitundu ekya ffeeza, na buli muntu empeta eya zaabu.