Job 42:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'awa Yobu ebirungi bingi mu bulamu obw'oluvannyuma okusinga bye yali amuwadde okuva lwe yasooka. Yafuna endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, eŋŋamiya kakaaga; emigongo gy'ente ezirima lukumi n'endogoyi lukumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’awa Yobu omukisa mu nnaku ze ezaasembayo n’okusinga entandikwa ye bwe yali: yafuna endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, n’eŋŋamira kakaaga, ne ziseddume z’ente lukumi, n’endogoyi enkazi lukumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'awa Yobu omukisa mu kiseera ky'obulamu bwe ekyasembayo, okusinga kiri ekyasooka. Yobu n'aba n'endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya (14,000), n'eŋŋamira kakaaga (6,000), n'emigogo gy'ente lukumi (1,000), n'endogoyi enkazi lukumi (1,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'awa Yobu omukisa mu kiseera ky'obulamu bwe ekyasembayo, okusinga ne mu kyasooka. Yobu n'aba n'endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, n'eŋŋamiya kakaaga, n'emigongo gy'ente lukumi egikola emirimu, n'endogoyi enkazi lukumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'awa omukisa enkomerero ya Yobu okukira entandikwa ye: n'aba n'endiga kakumi mu enkumi nnya, n'eŋŋamira kakaaga, n'emigogo gy'ente lukumi n'endogoyi enkazi lukumi.