Job 42:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nsi eyo yonna tewabangayo bakazi babalagavu nga bawala ba Yobu. Kitaabwe yabagabanyiza ne ku by'obusika wamu ne bannyinaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu nsi yonna ne wataba bakazi balungi kwenkana bawala ba Yobu. Kitaabwe n’abawa omugabo ogw’ebintu ogwenkanankana ne gwe yawa bannyinaabwe abalenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nsi yonna tewali bakazi balungi okwenkana abawala ba Yobu. Kitaabwe n'abawa omugabo gw'obusika wamu ne bannyinaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nsi yonna tewaali bakazi balungi babalagavu nga bawala ba Yobu. Kitaabwe n'abawa omugabo gw'obusika, awamu ne bannyinaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu nsi yonna ne watalabika abakazi abalungi okwenkana abawala ba Yobu: kitaabwe n'abawa obusika mu baganda baabwe.