Job 42:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma nga byonna biwedde, Yobu n'awangaalayo emyaka kikumi mu ana, n'alaba abaana be n'abaana b'abaana okutuusa ku zzadde eryokuna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’awangaala emyaka kikumi mu ana; n’alaba ku baana be ne ku bazzukulu be okutuuka ku bannakasatwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ebyo, Yobu n'awangaala emyaka kikumi mu ana (140), n'alaba batabani be, n'abazzukulu okutuuka ku bannakasatwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Yobu n'awangaala emyaka kikumi mu ana, n'alaba abaana be n'abazzukulu, okutuuka ku bannakasatwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ebyo Yobu n'awangaala emyaka kikumi mu ana, n'alaba batabani be n'abaana ba batabani be, bannakasatwe.