Job 42:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Ani oyo atalaba, abuzaabuza ebigambo byange?’ Ggwe wamma nayogedde ku bye simanyi; ebyewuunyisa ebinsukkiridde, bye simanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabuuza nti, ‘Ani ono aziyiza okuteesa kwange atalina magezi?’ Mazima ddala nayogera ebintu bye sitegeera, ebintu ebyassukirira okutegeera kwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wabuuziza nti, “Ani oyo aziyiza okuteesa kwo ng'ayogeza obutamanya?” Mazima nayogedde ku bintu bye sitegeera, Eby'ekitalo ebyannemye okumanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obuuzizza nti: ‘Ono ani aziyiza entegeka zo okutegeerekeka, ng'ayogeza obutamanya?’ Ddala nayogedde ku bintu bye sitegeera, ebimpitiriddeko, ebyannemye okumanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani ono akisa okuteesa awatali kumanya? Kyennavudde njatula ebyo bye ssaategedde, Ebigambo eby'ekitalo ebyannemye bye ssaamanye.