Job 42:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bwe yamala okugamba Yobu ebigambo bino, n'agamba Elifazi ow'e Temani nti: “Obusungu bwange bukweserereddeko, ku ggwe ne ku banno ababiri, kubanga temunjogeddeeko bituufu ng'omuweereza wange Yobu bw'akoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga Mukama amaze okwogera ebigambo bino eri Yobu, n’agamba Erifaazi Omutemani nti, “Nkunyiigidde ggwe ne mikwano gyo ababiri; kubanga temwanjogerako bituufu, ng’omuddu wange Yobu bw’akoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama bwe yamala okugamba Yobu ebigambo ebyo, n'agamba Erifaazi Omutemani nti, “Nkusunguwalidde nnyo ggwe ne banno bombi: kubanga temunjogeddeeko bigambo by'amazima, ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama bwe yamala okwogera ne Yobu ebigambo ebyo, n'agamba Elifaazi Omutemani nti: “Nkusunguwalidde nnyo ggwe ne banno bombi, kubanga temunjogeddeeko bituufu ng'omuweereza wange Yobu bw'ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Mukama bwe yamala okugamba Yobu ebigambo ebyo, Mukama n'agamba Erifaazi Omutemani nti Obusungu bwange bukubuubuukidde ggwe ne banno bombi: kubanga temunjogeddeeko ekigambo ekirina ensonga, ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde.