Job 42:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno muddire ente ennume ento musanvu n'endiga ennume musanvu, mugende eri omuweereza wange Yobu, muweereze ekitambiro ku lwammwe; omuweereza wange Yobu anaabasabira. Nzija kuwulira okwegayirira kwe ne sibayisa nga nsinziira ku busiru bwammwe; temunjogeddeeko bituufu ng'omuweereza wange Yobu bw'akoze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo kaakano mutwale ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, mweweereyo eyo ekiweebwayo ekyokebwa, n’omuddu wange Yobu ajja kubasabira, kubanga nzija kukkiriza okusaba kwe nneme okubakolako ng’obusirusiru bwammwe bwe buli. Kubanga temwanjogerako bituufu ng’omuddu wange bw’akoze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano mutwale ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, muweeyo ekiweebwayo ekyokebwa. Omuddu wange Yobu abasabire. Kubanga oyo gwe nnakkiriza nneme okubakola ng'obusirusiru bwammwe bwe busaaanira, kubanga temunjogeddeeko bigambo bituufu ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano mutwale ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu eri omuweereza wange Yobu, muweeyo ku lwammwe ekiweebwayo ekyokebwa. Omuweereza wange Yobu abasabire. Oyo gwe nnakkiriza, nneme kubakolako mmwe, ng'obusirusiru bwammwe bwe busaanira, kubanga temunjogeddeeko bituufu ng'omuweereza wange Yobu by'ayogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno mwetwalire ente ennume musanvu n'endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, muweeyo ekiweebwayo ekyokebwa; era omuddu wange Yobu anaabasabira; kubanga oyo gwe nnakkiriza nneme okubakola ng'obusirusiru bwammwe bwe buli; kubanga temunjogeddeko kigambo ekirina ensonga ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde: