Job 42:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Elifazi ow'e Temani, Biludadi ow'e Suki ne Zofari ow'e Naame ne bagenda, ne bakola nga Omukama bwe yabagamba; Katonda n'akkiriza okwegayirira kwa Yobu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Awo Mukama n’akkiriza okusaba kwa Yobu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda, ne bakola nga Mukama bw'abalagidde. Mukama n'akkiriza Yobu bye yabasabira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Elifaazi Omutemani, ne Biludaadi Omusuuhi, ne Zefari Omunaamati ne bagenda, ne bakola nga Mukama bw'alagidde. Mukama n'akkiriza Yobu bye yabasabira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Erifaazi Omutemani ne Birudaadi Omusuki ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bw'abalagidde: kale Mukama n'akkiriza Yobu.