Job 5:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olimanya nti weema yo eri mu ddembe; bw'olibala eby'omu kisulo kyo, tolisanga kibulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olimanya nti, ensiisira yo eri mirembe; era eby’obugagga byo olibibala n’olaba nga tewali kibuzeeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oneekakasanga nti mu nnyumba oli mirembe; Era onoolambulanga ekisibo kyo nga tekuliiko ebuze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oneekakasanga nti mu nnyumba yo oli mirembe; era ne wekkaanya nti ensolo z'omu ggana lyo tekuliiko ekubuze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoomanyanga ng'eweema yo eri mirembe; Era onoolambulanga ekisibo kyo n'otobulwa kintu.