Job 5:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oliyingira entaana ng'okyewulira amaanyi go gonna, ng'entuumu z'eŋŋano ezikuŋŋaanyizibwa mu budde bwayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala, ng’eŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olituuka mu ntaana yo ng'owangadde emyaka mmingi. Ng'ekinywa ky'eŋŋaano bwe kireetebwa okuwuulwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olifa n'oteekebwa mu ntaana ng'omaze okuwangaala, ng'eŋŋaano gye bakungudde n'ereetebwa ewuulwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olituuka mu ntaana yo ng'owezezza emyaka mmingi. Ng'ekinywa ky'eŋŋaano bwe kijja mu ntuuko zaakyo.