Job 5:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani be bali wala n'okuwonyezebwa; balirinnyirirwa mu mulyango, tewaliba abataasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana baabwe tebalina bukuumi, babetenterwa mu luggya nga tewali abawolereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana be baba wala n'emirembe, Era babetentebwa mu mulyango, Era tewaba abawonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana be baba mu kabi, babetenterwa mu mulyango. Era tewaba abawonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana be baba wala n'emirembe, Era babetentebwa mu mulyango, So tewali wa kubawonya.