Job 6:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga obusaale bw'Omuyinza wa buli kantu bundaaliddemu, omwoyo gwange gunuuna obusagwa bwagwo, n'entiisa ya Katonda esitukiddemu okunnwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo: entiisa ya Katonda erwana nange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obusaale bw'Omuyinza w'ebintu byonna bunnyingidde mu mubiri. N'obusagwa bwabwo bumbunye. Eby'entiisa ebya Katonda bisimba ennyiriri okulwana nange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga obusaale bw'Omuyinzawaabyonna bunnyingidde mu mubiri. Obusagwa bwabwo bumbunye. Katonda by'alina eby'entiisa yabiggyayo bisimbe ennyiriri okunzigulako olutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obusaale bw'Omuyinza w'ebintu byonna buli munda yange, N'obusagwa bwabwo omwoyo gwange gubunywa: Eby'entiisa ebya Katonda bisimba ennyiriri okulwana nange.