Job 7:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nange nno sijja kukoma ku kamwa kange, nzija kwogera mu kunyolwa kw'omutima gwange, nzija kwemulugunya mu nnyiike y'omwoyo gwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo sijja kuziyiza kamwa kange, nzija kwogera okulumwa kw’omutima gwange; nzija kwemulugunyiza mu bulumi bw’emmeeme yange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyennaava nange siisirika, Kaanjogerere mu bubalagaze bw'omwoyo gwange; Nga nneemulugunya lw'obuyinike obundi ku mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano siisirike, ka nsinde obuyinike bwange, njogere ennaku endi ku mwoyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyennaava nnema okuziyiza akamwa kange; Naayogeza obubalagaze bw'omwoyo gwange; Neemulugunyisa obuyinike bw'emmeeme yange.