Job 7:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki tonzigyako kibi kyange, n'osaasira ensobi yange? Kubanga mangu nzija kugalamira mu nfuufu; ononnoonya, naye nnaaba sikyaliwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era lwaki tosonyiwa kwonoona kwange, n’oggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano nzija kwebaka mu ntaana; era ojja kunnoonya ku makya naye naaba sikyaliwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n'okuggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano ngenda kufa ngalamire mu nfuufu, Naawe bw'olinnoonya, ndiba siikyaliwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale lwaki tonsonyiwa buli kye nsobya kyonna, n'oggyawo ekibi kyange? Kubanga kaakano nja kufa ngalamire mu nfuufu. Era bw'ononnoonya nja kuba sikyaliwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n'okuggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano naagalamira mu nfuufu; Naawe olinnoonyeza ddala, naye nze nga siriiwo.