Job 7:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ngalamira, ne ŋŋamba nti: ‘Nnaazuukuka ddi?’ Ekiro kiyita mpola, nkulungutana okutuusa ku maliiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ngalamira neebake, njogera nti, ‘Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi?’ Nga nzijudde okukulungutana okutuusa obudde lwe bukya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ngalamira ne nneebuuza nti: Bunaakya ddi? ng'ekiro tekigwako, Era nsula nkulungutana okukeesa obudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ngalamira ne nneebuuza nti: ‘Okugolokoka kwa ddi?’ Naye ekiro tekiggwaako! Nsula nkulungutana okukeesa obudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe ngalamira ne njogera nti Naayimuka ddi? naye ekiro kirwawo; Era nsula nneekubiira okukeesa obudde.