Job 7:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eriiso erindaba kati terikyaddamu nate kundaba; mulinnoonya, naye nga sikyaliwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriiso ly’oyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba; amaaso gammwe galinnoonya, naye nga sikyaliwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eriiso erintunulako teririddayo kundabako. Amaaso galinnoonya, naye nga siriiwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eriiso erintunulako teririddayo kundabako. Amaaso bwe galinnoonya ndiba nabuzeewo dda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eriiso ly'oyo andaba terikyandaba nate: Amaaso go galiba ku nze, naye nga siriiwo.