Job 8:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddala obulamu bwagwo bwe butyo bwe buggwaawo, emirala mu ttaka ne gisibukawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo, ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'essanyu ly'omubi bwe liba. Mu kifo kye muddamu abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'essanyu ly'omubi bwe liba. Kubanga wajjawo abalala ne badda mu kifo mw'abadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, eryo lye ssanyu ery'ekkubo lye, N'abalala baliroka okuva mu ttaka.