Job 8:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kituufu Katonda teyeemansula ataliiko musango, era tanyweza mukono gwa mubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango, era tanyweza mukono gw’abakola ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda talekerera muntu ataliiko musango, So taawanirira abo abakola ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nno Katonda talyabulira muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era taliyamba bakola bibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, Katonda taasuulenga muntu eyatuukirira. So taawanirirenga abo abakola obubi.